Add parallel Print Page Options

15 (A)Eyakukulemberanga n’akuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egy’obusagwa, n’enjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi.

Read full chapter

(A)“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
    engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
    mu nsi etali nnime.

Read full chapter

(A)Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
    eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
    mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”

Read full chapter

(A)Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu[a] okuva e Kolebu[b] okutuuka e Kadesubanea, ng’okutte ekkubo eriyitira ku Lusozi Seyiri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:2 Mu biro biri entambula yali ya njawulo
  2. 1:2 Kolebu Erinnya ly’Olusozi Kolebu eddala ly’Olusozi Sinaayi.

26 (A)Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka n’eri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo.

Read full chapter