Engero 10:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,
naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.
Eseza 9:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka n’awa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba.
Read full chapter
Danyeri 6:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.