Add parallel Print Page Options

10 Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda,
    n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.

11 (A)Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama,
    ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.

12 (B)Kya muzizo bakabaka okukola ebibi,
    kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.

13 (C)Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira,
    era baagala oyo ayogera amazima.

14 (D)Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa,
    omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.

15 (E)Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu;
    n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba[a] mu biseera ebya ttoggo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 16:15 Ekire ky’enkuba mu biseera ebya ttoggo etegeeza kujimuka, era kabonero ka kukulaakulana na ssanyu