Add parallel Print Page Options

17 (A)Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,
    era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

Read full chapter

40 (A)“Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma.

Read full chapter

42 (A)Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi y’amazzi agannyogoga olw’erinnya ly’omuyigiriza talirema kuweebwa mpeera ye.”

Read full chapter

10 (A)Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza.

Read full chapter

(A)Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde.

Read full chapter