Add parallel Print Page Options

(A)Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange,
    ndi mulongoofu era sirina kibi?”

Read full chapter

20 (A)Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,
    atakola bibi.

Read full chapter

Tewali mutuukirivu n’omu

(A)Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga.

Read full chapter

(A)Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. (B)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 (C)Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.

Read full chapter

33 (A)Ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbagobereza ekitala kyange. Ensi yammwe erifuuka amalungu n’ebibuga byammwe nga bimenyeddwa. 34 (B)Awo ettaka ne liryoka lifuna emyaka egya ssabbiiti zaalyo mu bbanga eryo lye lirimala nga tewali alifaako, nga mmwe muli mu nsi z’abalabe bammwe; ettaka ne liwummulako ne lyeyagalira mu ssabbiiti zaalyo ezo. 35 Ebbanga eryo lyonna ettaka lye lirimala nga tewali kikolerwako, liriba n’okuwummula kwe litaafuna mu ssabbiiti ezaayita bwe mwali nga mmwe mulibeerako.

36 (C)“Mu mmwe, abaliba basigaddewo nga bakyali balamu, nditeeka okutya mu mitima gyabwe nga bali eyo mu nsi z’abalabe baabwe, nga n’eddoboozi ly’akakoola k’omuti akafuumuulibwa n’empewo kabatiisa. Banaddukanga ng’abaliko abalabe ab’ebitala ababagoba, banaagwanga newaakubadde nga tewaabeerengawo babawondera. 37 (D)Banaagwaŋŋanangako ng’abadduka okwewonya omulabe ow’ekitala newaakubadde nga tewaabengawo babawondera. Bwe mutyo temuusobolenga kwolekera balabe bammwe. 38 (E)Mulisaanawo mu mawanga; ensi z’abalabe bammwe ziribamira. 39 (F)N’abo ku mmwe abanaabanga basigaddewo banaakoozimbiranga mu nsi z’abalabe bammwe olw’ebibi byabwe, era balikoozimba n’olw’ebibi bya bakitaabwe.

Read full chapter

64 (A)Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.

Read full chapter