Add parallel Print Page Options

13 Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
    omuntu oyo afuna okutegeera,
14 (A)kubanga amagezi gasinga ffeeza
    era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 (B)Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:
    era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 (C)Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
    ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 (D)Mu magezi mulimu essanyu,
    era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 (E)Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;
    abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.

Read full chapter

Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama,
    naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.

Read full chapter