Add parallel Print Page Options

Okulabula ku Bwenzi

(A)Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,
    era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,
    era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
(B)Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
    n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
(C)naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
    era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
(D)Ebigere bye bituuka mu kufa,
    ebisinde bye biraga emagombe.
(E)Tafaayo ku kkubo lya bulamu,
    amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

Read full chapter

Okulabula Ku Bwenzi

20 (A)Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
    era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 (B)Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
    era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22 Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
    ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
    ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 (C)Kubanga amateeka ttabaaza,
    era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
    ly’ekkubo ery’obulamu,
24 (D)okukuwonya omukazi ow’ebibi,
    okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
    wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 (E)kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
    era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27 Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
    ebyambalo bye ne bitaggya?
28 Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
    ebigere bye ne bitasiriira?
29 (F)Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
    buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.

Read full chapter

(A)Binaakuwonyanga omukazi omwenzi,
    omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.

Lumu nnali nnyimiridde
    ku ddirisa ly’ennyumba yange.
(B)Ne ndaba mu bavubuka abatoototo,
    omulenzi atalina magezi,
ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi,
    n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
(C)olw’eggulo ng’obudde buzibye,
    ekizikiza nga kikutte.

10 Awo omukazi n’ajja okumusisinkana
    ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
11 (D)Omukazi omukalukalu,
    atambulatambula ennyo atabeerako waka,
12 (E)wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu,
    mu buli kafo konna ng’ateega!
13 (F)N’amuvumbagira, n’amunywegera
    era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:

14 (G)“Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe,
    leero ntukiriza obweyamo bwange.
15 Noolwekyo nzize okukusisinkana,
    mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16 Obuliri bwange mbwaze bulungi
    n’engoye eza linena ava mu Misiri.
17 (H)Mbukubye n’akaloosa,
    n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
18 (I)Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya;
    leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19 Kubanga baze taliiyo eka;
    yatambula olugendo luwanvu:
20 Yagenda n’ensawo y’ensimbi;
    era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”

21 (J)Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza;
    n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
22 (K)Amangwago omuvubuka n’amugoberera
    ng’ente etwalibwa okuttibwa
obanga empeewo egwa mu mutego,
23     (L)okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
    so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.

24 (M)Kaakano nno batabani bange mumpulirize,
    era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
25 (N)Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye;
    temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
26 Kubanga bangi bazikiridde,
    ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
27 (O)Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe,
    nga likka mu bisenge eby’okufa.

Read full chapter