Add parallel Print Page Options

28 (A)Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba,
    naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.

Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi,
    naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.

Omufuzi anyigiriza abaavu,
    afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime.

Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi,
    naye abo abagakuuma babawakanya.

Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya,
    naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.

(B)Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
    asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.

(C)Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza,
    naye mukwano gw’ab’omululu akwasa kitaawe ensonyi.

(D)Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya,
    abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu.

(E)Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama,
    n’okusaba kwe tekukkirizibwa.

10 (F)Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,
    aligwa mu katego ke ye,
    naye abatuukirivu balisikira ebirungi.

11 Omugagga alowooza nti mugezi,
    naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.

12 (G)Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi,
    naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka.

13 (H)Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,
    naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.

14 Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna,
    naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.

15 Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa,
    bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola.

16 Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya,
    naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi.

17 (I)Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne,
    alibeera mu kutegana okutuusa okufa,
    tewabanga n’omu amuyamba.

18 (J)Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi,
    naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.

19 (K)Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi,
    naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.

20 (L)Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi,
    naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.

21 (M)Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi,
    naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.

22 (N)Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala,
    naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.

23 (O)Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja,
    okusinga oyo awaaniriza n’olulimi.

24 (P)Buli anyaga kitaawe, oba nnyina,
    n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza.

25 (Q)Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo,
    naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa.

26 (R)Eyeesiga omutima gwe, musirusiru,
    naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe.

27 (S)Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga,
    naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.

28 (T)Abakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka,
    naye abakozi b’ebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.