A A A A A
Bible Book List

Eseza 3 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Olukwe lwa Kamani Okusaanyaawo Abayudaaya

Oluvannyuma lw’ebyo Kabaka Akaswero n’akuza Kamani mutabani wa Kammedasa, Omwagaagi era n’amusukkiriza n’amuwa n’entebe ey’ekitiibwa okusinga abakungu abalala bonna. Era abaddu ba Kabaka bonna abaabeeranga ku wankaaki wa Kabaka baamufukaamiriranga ne bamuwa ekitiibwa, kubanga kyali kiragiro ekyava eri Kabaka. Naye Moluddekaayi teyamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa.

Awo abagalagala ba Kabaka ab’oku wankaaki ne babuuza Moluddekaayi nti, “Nsonga ki ekulobera okugondera ekiragiro kya Kabaka?” Buli lunaku baayogeranga naye ku nsonga eyo naye ye n’agaana okubawuliriza. Ekyavaamu kwe kubuulira Kamani ku nsonga y’emu, balabe oba Moluddekaayi anaakyusa ku nneeyisa ye, kubanga yali yabategeezaako nti Muyudaaya.

Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi tamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwala nnyo. Bwe yategeera abantu ba Moluddekaayi kye bali, Kamani n’alaba ng’okumutta yekka tekigasa. Kamani n’anoonya engeri gy’ayinza okuzikiriza abantu ba Moluddekaayi, Abayudaaya bonna mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero. Awo mu mwezi ogw’olubereberye ogwa Nisani, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, ke kalulu, mu maaso ga Kamani okufuna olunaku n’omwezi, era omwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali ne gulondebwa.

Awo Kamani n’agamba Kabaka Akaswero nti, “Waliwo abantu abasaasaanye ate nga beeyawudde ku mawanga mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwo; n’amateeka gaabwe ga njawulo ku g’abantu abalala bonna, era tebakuuma mateeka ga Kabaka. Noolwekyo tekigasa Kabaka kubagumiikiriza. Kabaka bw’anasiima, kiwandiikibwe era kiyisibwe, n’okuzikirizibwa bazikirizibwe: nange ndisasula ttalanta eza ttani ebikumi bisatu mu nsavu mu ttaano[a] ebya ffeeza mu ggwanika lya Kabaka.”

10 Awo kabaka n’aggya empeta[b] ye ku ngalo ye n’agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya. 11 Ate era Kabaka n’agamba Kamani nti, “Ensimbi zikuweereddwa n’abantu bakole nga bw’osiima.”

12 Ne bayita abawandiisi ba Kabaka ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’olubereberye, ne bawandiika byonna nga Kamani bwe yalagira, ne bawandiikira abaamasaza ne bagavana ba buli kitundu, n’abakungu ba buli ggwanga; era n’eri buli kitundu ng’empandiika yaakyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali; byawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero n’empeta ya Kabaka. 13 Ebbaluwa zaatwalibwa ababaka mu bitundu byonna ebya Kabaka n’ekiragiro, eky’okuzikiriza, n’okutta n’okumalawo Abayudaaya bonna, abato n’abakadde, abaana abato n’abakazi mu lunaku lumu olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali, awamu n’okunyaga ebyabwe byonna. 14 Ebyaggyibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro ne kirangirirwa mu buli kitundu, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo.

15 Awo ababaka ne banguwa okugenda olw’ekiragiro kya Kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani. Awo Kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kisasamala.

Footnotes:

  1. 3:9 ze ttani nga 345 mu mbala eyabulijjo
  2. 3:10 Empeta ya kabaka yakozesebwanga okukakasa ebiragiro.
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Esther 3 New International Version (NIV)

Haman’s Plot to Destroy the Jews

After these events, King Xerxes honored Haman son of Hammedatha, the Agagite, elevating him and giving him a seat of honor higher than that of all the other nobles. All the royal officials at the king’s gate knelt down and paid honor to Haman, for the king had commanded this concerning him. But Mordecai would not kneel down or pay him honor.

Then the royal officials at the king’s gate asked Mordecai, “Why do you disobey the king’s command?” Day after day they spoke to him but he refused to comply. Therefore they told Haman about it to see whether Mordecai’s behavior would be tolerated, for he had told them he was a Jew.

When Haman saw that Mordecai would not kneel down or pay him honor, he was enraged. Yet having learned who Mordecai’s people were, he scorned the idea of killing only Mordecai. Instead Haman looked for a way to destroy all Mordecai’s people, the Jews, throughout the whole kingdom of Xerxes.

In the twelfth year of King Xerxes, in the first month, the month of Nisan, the pur (that is, the lot) was cast in the presence of Haman to select a day and month. And the lot fell on[a] the twelfth month, the month of Adar.

Then Haman said to King Xerxes, “There is a certain people dispersed among the peoples in all the provinces of your kingdom who keep themselves separate. Their customs are different from those of all other people, and they do not obey the king’s laws; it is not in the king’s best interest to tolerate them. If it pleases the king, let a decree be issued to destroy them, and I will give ten thousand talents[b] of silver to the king’s administrators for the royal treasury.”

10 So the king took his signet ring from his finger and gave it to Haman son of Hammedatha, the Agagite, the enemy of the Jews. 11 “Keep the money,” the king said to Haman, “and do with the people as you please.”

12 Then on the thirteenth day of the first month the royal secretaries were summoned. They wrote out in the script of each province and in the language of each people all Haman’s orders to the king’s satraps, the governors of the various provinces and the nobles of the various peoples. These were written in the name of King Xerxes himself and sealed with his own ring. 13 Dispatches were sent by couriers to all the king’s provinces with the order to destroy, kill and annihilate all the Jews—young and old, women and children—on a single day, the thirteenth day of the twelfth month, the month of Adar, and to plunder their goods. 14 A copy of the text of the edict was to be issued as law in every province and made known to the people of every nationality so they would be ready for that day.

15 The couriers went out, spurred on by the king’s command, and the edict was issued in the citadel of Susa. The king and Haman sat down to drink, but the city of Susa was bewildered.

Footnotes:

  1. Esther 3:7 Septuagint; Hebrew does not have And the lot fell on.
  2. Esther 3:9 That is, about 375 tons or about 340 metric tons
New International Version (NIV)

Holy Bible, New International Version®, NIV® Copyright ©1973, 1978, 1984, 2011 by Biblica, Inc.® Used by permission. All rights reserved worldwide.

Viewing of
Cross references
Footnotes