Add parallel Print Page Options

16 (A)“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani, musiibe ku lwange, so temulya wadde okunywa ekintu emisana n’ekiro okumala ennaku ssatu. Nze n’abaweereza bange abakyala tunaasiibira wamu nammwe. Ekyo nga kiwedde, ndigenda eri Kabaka, newaakubadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe ndiba ow’okuzikirira, nzikirira.”

Read full chapter

13 (A)Wayonjebwa ne zaabu n’effeeza, n’engoye zo zaali za linena, n’ebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere ey’obutta obulungi, n’omubisi gw’enjuki n’omuzigo ogw’omuzeyituuni. Walungiwa nnyo n’otuuka ku mwaliiro ery’obwa kabaka omukazi.

Read full chapter

Awo Kabaka n’abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali yakayingira mu luggya olw’ebweru olw’oku lubiri lwa Kabaka, nga azze okwogera ne Kabaka ku kigambo eky’okuwanika Moluddekaayi ku kalabba Kamani ke yali amuzimbidde.

Read full chapter

21 Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama,
    era agukyusiza gy’ayagala yonna.

Read full chapter