A A A A A
Bible Book List

Eseza 3:10 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

10 Awo kabaka n’aggya empeta[a] ye ku ngalo ye n’agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya.

Footnotes:

  1. 3:10 Empeta ya kabaka yakozesebwanga okukakasa ebiragiro.
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Okuva 17:8-16 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana

Awo Abamaleki[a] ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”

10 Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12 Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13 Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.

14 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”

15 Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16 N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”

Footnotes:

  1. 17:8 Abamaleki baali bazzukulu ba mukoddomi wa Esawu, eyawasa muwala wa Esawu, era baanyaganga bunyazi batambuze mu ddungu.
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Okubala 24:7 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga
    ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.

“Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi
    obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Ekyamateeka Olwokubiri 25:17-19 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

17 Teweerabiranga Abamaleki bye baakukola bwe wali mu lugendo lwo ng’ova mu Misiri. 18 Bwe wali okooye nnyo nga n’amaanyi gakuweddemu, baakusanga mu lugendo lwo olwo, ne balumba abo bonna abaali basembyeyo emabega wo ne babatta; Katonda nga tebamutya. 19 Bw’olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’akumazeeko n’abalabe bo bonna ku njuyi zonna, ng’owummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki n’obamalirawo ddala bonna wansi w’eggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

1 Samwiri 14:48 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

48 N’alwana n’obuzira bungi n’awangula Abamaleki, n’anunula Isirayiri okuva mu mukono gw’abo abaabanyaganga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Eseza 5:11 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

11 era n’abeewaanirako ekitiibwa n’obugagga bwe, bwe byenkana obungi, n’abaana be bwe benkana obungi, n’ebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka n’abaana be.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes