Add parallel Print Page Options

28 (A)Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.

Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.

Read full chapter

19 (A)Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olw’ebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, n’ekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.

Read full chapter