Add parallel Print Page Options

Yerusaalemi Omuzabbibu Ogutaliimu Nsa

15 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, omuti gw’omuzabbibu gusinga gutya ettabi ery’omuti ku miti egy’omu kibira? Guvaamu omuti ogukolebwamu ekintu kyonna eky’omugaso? Kiyinzika ogukolamu eŋŋango ey’okuwanikako ekintu kyonna? (B)Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n’eruuyi, ne wakati ne wasiriira guba gukyaliko kye gugasa? Bwe guba nga tegwali gwa mugaso nga mulamba, olwo guyinza okubaako kye gugasa nga gwokebbwa mu muliro ne gusiriira?”

Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Nga bwe njogedde ku muzabbibu mu miti egy’omu kibira, gwe ntadde mu muliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndyokya abatuuze ba Yerusaalemi. (C)Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, omuliro gulibookya, era mulimanya nga nze Mukama Katonda. (D)Ndizisa ensi, kubanga tebabadde beesigwa, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Jerusalem as a Useless Vine

15 The word of the Lord came to me: “Son of man, how is the wood of a vine(A) different from that of a branch from any of the trees in the forest? Is wood ever taken from it to make anything useful?(B) Do they make pegs(C) from it to hang things on? And after it is thrown on the fire as fuel and the fire burns both ends and chars the middle, is it then useful for anything?(D) If it was not useful for anything when it was whole, how much less can it be made into something useful when the fire has burned it and it is charred?

“Therefore this is what the Sovereign Lord says: As I have given the wood of the vine among the trees of the forest as fuel for the fire, so will I treat the people living in Jerusalem. I will set my face against(E) them. Although they have come out of the fire(F), the fire will yet consume them. And when I set my face against them, you will know that I am the Lord.(G) I will make the land desolate(H) because they have been unfaithful,(I) declares the Sovereign Lord.”