Add parallel Print Page Options

23 (A)Ku ntikko ey’olusozi lwa Isirayiri kwe ndirisimba era lirireeta amatabi ne libala ebibala, ne gaba omuvule ogwegombesa. Ennyonyi eza buli kika ziriwummulira ku gwo, era zirifuna we zituula mu bisiikirize eby’amatabi gaagwo.

Read full chapter

Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna

(A)Mu nnaku ez’oluvannyuma
    olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
    okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
    era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.

Read full chapter

18 (A)“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
    n’obusozi bulikulukusa amata,
    n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
    n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.

Read full chapter

21 (A)“Ku lunaku olwo,
    ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
22 (B)ensi erimeramu emmere ey’empeke,
    ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,[a]
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:22 Yezuleeri kitegeeza Katonda asimba

11 (A)Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
    n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,
    amagumba go aligongeramu amaanyi;
era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,
    era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.

Read full chapter

19 (A)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
    era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
    tegaliddayo kuwulirwamu.

Read full chapter

22 (A)Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako.

Read full chapter

17 (A)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
    y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
    Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

Read full chapter