Add parallel Print Page Options

24 (A)Era emiti gyonna egy’omu ttale giritegeera nga nze Mukama ayimpaya omuti omuwanvu, ate ne mpanvuya omuti omumpi. Nkaza omuti ogwakamera, ne mmerusa n’omuti ogubadde gukaze.

“ ‘Nze Mukama Katonda nze nkyogedde, era ndikikola.’ ”

Read full chapter

16 (A)Era n’amagezi ge ag’obuntu gakyusibwe, afuuke ng’ensolo enkambwe ey’omu nsiko okumala emyaka musanvu.

17 (B)“ ‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’asiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’

Read full chapter

35 (A)Abantu bonna ab’oku nsi
    abalaba nga si kintu,
eggye ery’omu ggulu
    n’abantu ab’oku nsi
    abayisa nga bw’asiima.
Tewali ayinza okumuziyiza,
    newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?”

Read full chapter