Add parallel Print Page Options

(A)Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Muteeke entamu ku kyoto,
    musseemu amazzi.
Mugiteekemu ebifi eby’ennyama,
    ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono.
Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi,
    (B)mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo,
Oteeke ebisiki wansi w’entamu,
    mweseze ebigirimu,
    era ofumbe n’amagumba agalimu.

(C)“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi,
    ggwe entamu eriko enziro,
    eteereddwamu ebintu ebitaaveemu.
Gyamu ekifi kimu kimu
    awatali kukuba kalulu.

(D)“ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye,
    yaguyiwa ku lwazi olwereere;
teyaguyiwa wansi
    enfuufu ereme okugubikka.
Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga
    n’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere,
    guleme okubikkibwako.

“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi!
    Nange ndituuma enku nnyingi ddala.
10 Mutuume ebisiki,
    mukume omuliro,
ennyama mugifumbe bulungi,
    mugiteekemu ebirungo,
    n’amagumba gasiriire.
11 (E)Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga,
    okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera,
ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka,
    n’ebyateekebbwamu ne byokebwa.
12 Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere,
    kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu,
    n’omuliro nagwo tegubyokeza.

13 (F)“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.

Read full chapter

    (A)mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi;
mmwe ababaagako abantu bange eddiba
    ne mubaggyako ennyama ku magumba?
(B)Mulya ennyama yaabwe,
    ne mubabaagako eddiba,
    amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya,
era ne mubasalaasala ng’ennyama
    eneefumbibwa mu nsaka.”

Read full chapter