Add parallel Print Page Options

(A)“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti:

“ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga,
    ng’ogusota wakati mu nnyanja,
ng’owaguza mu migga gyo,
    era ng’otabangula amazzi,
    n’osiikuula n’emigga.

(B)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,
    ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,
    era balikuvuba n’akatimba kange.

Read full chapter