Add parallel Print Page Options

15 (A)Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene. 16 (B)Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.

Read full chapter

(A)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
    Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
    ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
    n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
    gulisaanyaawo ensi yonna.

Read full chapter

(A)Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange
    mpise abalwanyi bange ab’amaanyi,
    babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.

Read full chapter