Add parallel Print Page Options

Obunnabbi eri Googi

38 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu tunuuliza amaaso go eri Googi ow’omu nsi ya Magoogi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali, owe obunnabbi gy’ali, (B)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. (C)Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera n’eggye lyo lyonna, n’embalaasi n’abeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene n’entono, nga bakutte n’ebitala. (D)Obuperusi, ne Kuusi ne Puuti[a] balibeera wamu nabo, bonna nga balina engabo n’enkuufiira; (E)era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.

(F)“ ‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe n’ekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire. (G)Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe. (H)Ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ng’omuyaga, era muliba ng’ekire ekibisse ku nsi.

10 (I)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi. 11 (J)Muligamba nti, “Ndirumba ensi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma eby’amaanyi. 12 Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga ag’enjawulo gye babeera, abalina obugagga bw’ente n’ebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.” 13 (K)Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?” ’

14 (L)“Noolwekyo omwana w’omuntu kyonoova owa obunnabbi, n’ogamba Googi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ng’abatudde mirembe, temulikiraba? 15 (M)Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene. 16 (N)Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.

17 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe? 18 Naye ku lunaku olwo, Googi bw’alirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bw’ayogera Mukama Katonda. 19 (O)Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri; 20 (P)n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka. 21 (Q)Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bw’ayogera Mukama Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we. 22 (R)Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako. 23 (S)Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ ”

Footnotes

  1. 38:5 Puuli ne Puuti ye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya

The Lord’s Great Victory Over the Nations

38 The word of the Lord came to me: “Son of man, set your face against Gog,(A) of the land of Magog,(B) the chief prince of[a] Meshek and Tubal;(C) prophesy against him and say: ‘This is what the Sovereign Lord says: I am against you, Gog, chief prince of[b] Meshek and Tubal.(D) I will turn you around, put hooks(E) in your jaws and bring you out with your whole army—your horses, your horsemen fully armed, and a great horde with large and small shields, all of them brandishing their swords.(F) Persia, Cush[c](G) and Put(H) will be with them, all with shields and helmets, also Gomer(I) with all its troops, and Beth Togarmah(J) from the far north(K) with all its troops—the many nations with you.

“‘Get ready; be prepared,(L) you and all the hordes gathered about you, and take command of them. After many days(M) you will be called to arms. In future years you will invade a land that has recovered from war, whose people were gathered from many nations(N) to the mountains of Israel, which had long been desolate. They had been brought out from the nations, and now all of them live in safety.(O) You and all your troops and the many nations with you will go up, advancing like a storm;(P) you will be like a cloud(Q) covering the land.(R)

10 “‘This is what the Sovereign Lord says: On that day thoughts will come into your mind(S) and you will devise an evil scheme.(T) 11 You will say, “I will invade a land of unwalled villages; I will attack a peaceful and unsuspecting people(U)—all of them living without walls and without gates and bars.(V) 12 I will plunder and loot and turn my hand against the resettled ruins and the people gathered from the nations, rich in livestock and goods, living at the center of the land.[d] 13 Sheba(W) and Dedan(X) and the merchants of Tarshish(Y) and all her villages[e] will say to you, “Have you come to plunder? Have you gathered your hordes to loot, to carry off silver and gold, to take away livestock and goods and to seize much plunder?(Z)”’

14 “Therefore, son of man, prophesy and say to Gog: ‘This is what the Sovereign Lord says: In that day, when my people Israel are living in safety,(AA) will you not take notice of it? 15 You will come from your place in the far north,(AB) you and many nations with you, all of them riding on horses, a great horde, a mighty army.(AC) 16 You will advance against my people Israel like a cloud(AD) that covers the land.(AE) In days to come, Gog, I will bring you against my land, so that the nations may know me when I am proved holy(AF) through you before their eyes.(AG)

17 “‘This is what the Sovereign Lord says: You are the one I spoke of in former days by my servants the prophets of Israel. At that time they prophesied for years that I would bring you against them. 18 This is what will happen in that day: When Gog attacks the land of Israel, my hot anger will be aroused, declares the Sovereign Lord. 19 In my zeal and fiery wrath I declare that at that time there shall be a great earthquake(AH) in the land of Israel.(AI) 20 The fish in the sea, the birds in the sky, the beasts of the field, every creature that moves along the ground, and all the people on the face of the earth will tremble(AJ) at my presence. The mountains will be overturned,(AK) the cliffs will crumble(AL) and every wall will fall to the ground.(AM) 21 I will summon a sword(AN) against Gog on all my mountains, declares the Sovereign Lord. Every man’s sword will be against his brother.(AO) 22 I will execute judgment(AP) on him with plague and bloodshed;(AQ) I will pour down torrents of rain, hailstones(AR) and burning sulfur(AS) on him and on his troops and on the many nations with him.(AT) 23 And so I will show my greatness and my holiness, and I will make myself known in the sight of many nations. Then they will know that I am the Lord.(AU)

Footnotes

  1. Ezekiel 38:2 Or the prince of Rosh,
  2. Ezekiel 38:3 Or Gog, prince of Rosh,
  3. Ezekiel 38:5 That is, the upper Nile region
  4. Ezekiel 38:12 The Hebrew for this phrase means the navel of the earth.
  5. Ezekiel 38:13 Or her strong lions