Add parallel Print Page Options

Ekifaananyi Ekiraga Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi

“Kaakano omwana w’omuntu, ddira ekipande eky’ebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi ky’ekibuga Yerusaalemi, (A)okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna.

(B)“Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.

“N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo. Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri.

(C)“Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka. Olikyusa amaaso go n’otunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo n’omukono gwo ogutali mubikkeko, (D)Ndikusiba emiguwa n’otosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ez’obusibe bwo lwe ziriggwaako.

(E)“Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo. 10 Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. 11 Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere. 12 (F)Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.” 13 (G)Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”

14 (H)Ne njogera nti, “Nedda Ayi Mukama Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.”

15 N’ayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bw’ente okufumba omugaati mu kifo ky’obusa bw’abantu.”

16 (I)N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, 17 (J)kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.”

Siege of Jerusalem Symbolized

“Now, son of man, take a block of clay, put it in front of you and draw the city of Jerusalem on it. Then lay siege to it: Erect siege works against it, build a ramp(A) up to it, set up camps against it and put battering rams around it.(B) Then take an iron pan,(C) place it as an iron wall between you and the city and turn your face toward(D) it. It will be under siege, and you shall besiege it. This will be a sign(E) to the people of Israel.(F)

“Then lie on your left side and put the sin of the people of Israel upon yourself.[a] You are to bear their sin for the number of days you lie on your side. I have assigned you the same number of days as the years of their sin. So for 390 days you will bear the sin of the people of Israel.

“After you have finished this, lie down again, this time on your right side, and bear the sin(G) of the people of Judah. I have assigned you 40 days, a day for each year.(H) Turn your face(I) toward the siege of Jerusalem and with bared arm prophesy against her. I will tie you up with ropes so that you cannot turn from one side to the other until you have finished the days of your siege.(J)

“Take wheat and barley, beans and lentils, millet and spelt;(K) put them in a storage jar and use them to make bread for yourself. You are to eat it during the 390 days you lie on your side. 10 Weigh out twenty shekels[b](L) of food to eat each day and eat it at set times. 11 Also measure out a sixth of a hin[c] of water and drink it at set times.(M) 12 Eat the food as you would a loaf of barley bread; bake it in the sight of the people, using human excrement(N) for fuel.” 13 The Lord said, “In this way the people of Israel will eat defiled food among the nations where I will drive them.”(O)

14 Then I said, “Not so, Sovereign Lord!(P) I have never defiled myself. From my youth until now I have never eaten anything found dead(Q) or torn by wild animals. No impure meat has ever entered my mouth.(R)

15 “Very well,” he said, “I will let you bake your bread over cow dung instead of human excrement.”

16 He then said to me: “Son of man, I am about to cut off(S) the food supply in Jerusalem. The people will eat rationed food in anxiety and drink rationed water in despair,(T) 17 for food and water will be scarce.(U) They will be appalled at the sight of each other and will waste away because of[d] their sin.(V)

Footnotes

  1. Ezekiel 4:4 Or upon your side
  2. Ezekiel 4:10 That is, about 8 ounces or about 230 grams
  3. Ezekiel 4:11 That is, about 2/3 quart or about 0.6 liter
  4. Ezekiel 4:17 Or away in