Add parallel Print Page Options

17 (A)N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe!

Read full chapter

(A)“ ‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu eby’omuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala ab’e Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri.

Read full chapter

19 Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ez’omu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri, 20 gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ez’ekisajja nga zifaanana ez’endogoyi, n’amaanyi agabavaamu ng’ag’embalaasi. 21 (A)Bw’otyo n’oyaayaanira okwegomba okw’omu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri ey’obukaba, ne bakwatirira n’amabeere go amato.

Read full chapter