Add parallel Print Page Options

46 (A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. (B)Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. (C)Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri Mukama ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo; (D)n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. (E)Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo; (F)era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. (G)Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga.

(H)“ ‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko. 10 (I)Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga. 11 (J)Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa.

12 (K)“ ‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri Mukama, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa.

13 (L)“ ‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri Mukama buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya. 14 (M)Munaakiweerangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke buli nkya, ekiri kilo bbiri n’obutundu musanvu n’ekitundu awamu ne lita ennya ez’amafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eri Mukama ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo. 15 (N)Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo.

16 (O)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano. 17 (P)Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka. 18 (Q)Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ”

19 (R)Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba. 20 (S)N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.”

21 N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala. 22 Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu. 23 Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo eby’okuweesezaamu nga mulimu n’ebyoto wansi w’embu enjuuyi zonna. 24 N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”