Add parallel Print Page Options

(A)Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya[a], ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana.

Omuwendo gw’abantu ba Isirayiri gwali:

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:2 Nekkemiya ono, si ye oli eyawandiika ekitabo kya Nekkemiya.

Bakabona n’Abaleevi

12 (A)Bano be bakabona n’Abaleevi abaakomawo ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa:

Seraya, ne Yeremiya, ne Ezera,[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:1 Ezera oyo si ye Ezera kabona eyavanga mu lunyiriri lwa Seraya, eyali amanyi Amateeka (Ezr 7:1-5).

(A)Abaleevi baali: Yesuwa, ne Binnuyi, ne Kadumyeri, ne Serebiya, ne Yuda ne Mattaniya awamu ne baganda be, abaakulemberanga ennyimba ez’okwebaza mu kusinza.

Read full chapter

“Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti,

Read full chapter

Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:

Read full chapter

11 (A)Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki.

Read full chapter

Olulyo Olulangira Oluvannyuma lw’Okuva mu Buwaŋŋanguse

17 (A)Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba:

Seyalutyeri mutabani we,

Read full chapter

24 (A)“ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa.

Read full chapter

(A)Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza; (B)awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe.

Read full chapter