Add parallel Print Page Options

11 (A)Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza Mukama nga boogera nti,

“Mulungi,
    n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.”

Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw’ennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa.

Read full chapter

(A)Awo mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri nga batuuse awali yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe bakabona n’Abaleevi ne bonna abajja e Yerusaalemi okuva mu buwaŋŋanguse ne batandika omulimu ogw’okuzimba, era ne beerondamu abaali ab’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okusingawo, okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter

15 (A)Awo yeekaalu eyo n’emalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw’omwezi Adali, mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo.

Read full chapter

12 (A)Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter

(A)Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.

Read full chapter