Add parallel Print Page Options

(A)n’ava e Babulooni. Yali munnyonnyozi w’amateeka mukugu mu mateeka, Mukama Katonda wa Isirayiri ge yawa Musa. Kabaka n’amuwa buli kintu kye yasaba kubanga omukono gwa Mukama Katonda we gwali wamu naye.

Read full chapter

25 (A)“Naawe, ggwe Ezera, ng’okozesa amagezi Katonda ge yakuwa, londa abaami n’abalamuzi, abanaalamulanga abantu bonna ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati, abamanyi amateeka ga Katonda wo, era oyigirize n’abo abatagamanyi.

Read full chapter

(A)Ezera omuwandiisi n’ayimirira ku kituuti eky’embaawo kye baazimbira omukolo ogwo. Mattisiya, ne Sema, ne Anaya, ne Uliya, ne Kirukiya ne Maaseya be baamuliraana ku mukono gwe ogwa ddyo, ate Pedaya, ne Misayeri, ne Malukiya, ne Kasimu, ne Kasubaddana, ne Zekkaliya ne Mesullamu be baamuliraana ku mukono gwe ogwa kkono.

Read full chapter