Add parallel Print Page Options

(A)Ente emanya nannyini yo
    n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
    abantu bange tebantegeera.”

Read full chapter

15 (A)“ ‘Naye weesiga obulungi bwo, n’okozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, n’ofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe. 16 (B)Waddira ebimu ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu nga byamabala mangi, gye wakoleranga obwenzi bwo. Ebintu bwe bityo tebikolebwa, era tebikolebwanga. 17 (C)Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo, 18 n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo. 19 (D)N’emmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obw’obutta, n’omuzigo ogw’omuzeyituuni n’omubisi gw’enjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo eby’evvumbe eddungi eri bbyo. Era bw’otyo bwe wakola, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

(A)Balonda bakabaka nga sikkirizza,
    balonda abakulembeze be sikakasizza.
Beekolera ebifaananyi ebyole
    mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.

Read full chapter