Add parallel Print Page Options

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 (A)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
    n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[a]
    eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
    omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 (B)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
    kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 (C)Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
    abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
    kubanga kusaanidde.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:20 Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli

(A)ne muleetera Mukama Katonda ebiweebwayo ebyokye nga mubiggya mu biraalo byammwe oba mu bisibo byammwe, ekiweebwayo ku muliro oba ssaddaaka enjokye, okutuukiriza obweyamo bwammwe oba ebiweebwayo olw’okweyagalira oba ku mbaga zammwe entongole, ne muvaamu akawoowo akasanyusa Mukama;

Read full chapter

14 (A)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
    era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.

Read full chapter

(A)Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
    ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
    kubanga ddungi.

Read full chapter

17 (A)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.

Read full chapter

(A)Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n’abakulu b’ebika bya Isirayiri abalala ne babaddamu nti, “Temulina mugabo naffe mu kuddaabiriza yeekaalu ya Katonda waffe. Tuligizimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ffekka, nga kabaka Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe yatulagira.”

Read full chapter

13 (A)“Naye mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Babulooni, kabaka Kuulo oyo n’awa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda eno.

Read full chapter

(A)Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti:

Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27),

Read full chapter

14 (A)Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali.

Read full chapter