Add parallel Print Page Options

(A)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
    ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
    Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
(B)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
    oba okuba mu abo abattiddwa.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Read full chapter

40 (A)“Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi.

Read full chapter

Okufa kwa Yezeberi

30 (A)Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa.

Read full chapter

(A)Ekiro akaaba nnyo nnyini,
    n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
    talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
    bafuuse balabe be.

Read full chapter

(A)“Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo.

Read full chapter

22 (A)“Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna:

Read full chapter