Add parallel Print Page Options

12 (A)Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
    aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.

Read full chapter

13 (A)Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
    n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya
    wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.

Read full chapter

(A)“Ennaku zijja,
    lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
    akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
(B)Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
    ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
    Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.

(C)“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, (D)naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

Eggwanga Limu Lifugibwa Kabaka Omu

15 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 16 (A)“Omwana w’omuntu ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Guno gwa Yuda n’Abayisirayiri abakolagana nabo.’ Oddire n’omuggo omulala owandiikeko nti, ‘Guno muggo gwa Efulayimu owa Yusufu n’ennyumba ya Isirayiri yonna, bwe bakolagana.’ 17 (B)Bagatte bafuuke omuggo gumu, bafuuke omuntu omu mu mukono gwo.

18 (C)“Awo abantu bo bwe bakubuuzanga nti, ‘Amakulu ga bino kye ki?’ 19 (D)Obategeezanga nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndiddira omuggo gwa Yusufu oguli mu mukono gwa Efulayimu, n’ebika bya Isirayiri n’abo bwe bakolagana, ne mbigatta ku muggo gwa Yuda, bafuuke omuntu omu mu mukono gwange.’ 20 Balage emiggo gy’owandiiseeko, 21 (E)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndiggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda. Ndibakuŋŋaanya okuva wonna, ne mbakomyawo mu nsi yaabwe. 22 (F)Ndibafuula eggwanga limu mu nsi, ku nsozi za Isirayiri. Balifugibwa kabaka omu, tebaliddayo kubeera mawanga abiri, wadde okwawulibwa mu bwakabaka obubiri. 23 (G)Tebaliddayo kweyonoonyesa ne bakatonda abalala, ebintu ebikole obukozi n’emikono eby’ekivve, wadde okweyonoonyesa mu bibi byabwe. Ndibawonya okuva mu bifo byonna gye beeyonoonyesa, ndibafuula abalongoofu, muliba bantu bange, nange ndiba Katonda wammwe. 

24 (H)“ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba n’omusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange. 25 (I)Balibeera mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga. Bo n’abaana baabwe, balibeera omwo ennaku zonna, era Dawudi omuweereza wange alibeera mulangira waabwe emirembe gyonna. 26 (J)Ndikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano ey’olubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange eky’okubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna. 27 (K)Ekifo kyange eky’okubeeramu kinaabeeranga mu bo. Nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange. 28 (L)Amawanga galimanya nga nze Mukama Katonda, nze ntukuza Isirayiri; ekifo kyange eky’okubeeramu kiri mu bo emirembe gyonna.’ ”

Read full chapter