Add parallel Print Page Options

Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe

12 (A)Ku lunaku olwo oligamba nti,
    “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
    obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.

Read full chapter

13 (A)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
    Muyimbe mmwe ensozi!
    Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

Read full chapter

(A)Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;
    akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika
era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,
    n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;
Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,
    okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.

Read full chapter

Mukama Alinunula Abantu be

12 (A)“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.
    Mmwe baani abatya omuntu alifa,
    n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,

Read full chapter

(A)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
    mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
    anunudde Yerusaalemi.

Read full chapter

(A)Okulangirira omwaka gwa Mukama
    ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
    era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.

Read full chapter

13 (A)Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,
    bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi
    mu Yerusaalemi.”

Read full chapter

13 (A)Abawala balizina beesiime,
    n’abavubuka, n’abakadde.
Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu;
    ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.

Read full chapter

Oluyimba olw’Essanyu

14 (A)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
    yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
    ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (B)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
    agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
    tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (C)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
    “Totya, ggwe Sayuuni;
    emikono gyo gireme okuddirira.
17 (D)Mukama Katonda ali naawe,
    ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
    alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
    alikusanyukira n’okuyimba.”

Read full chapter

(A)Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe,

Read full chapter