Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni

13 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.

Read full chapter

12 (A)Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko.

Read full chapter

12 (A)“Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama.

Read full chapter

19 (A)Misiri erifuuka amatongo
    n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere
olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,
    ensi mwe battira abantu abatalina musango.

Read full chapter

10 (A)Yeebagala kerubi n’abuuka,[a]
    n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 18:10 Bakerubi batonde ba Katonda era babeera mu kitiibwa kye. Be balabirira Entebe ey’Obwakabaka ey’Obwakatonda.

    (A)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.

Read full chapter

(A)Laba, ajja n’ebire,
    na buli liiso lirimulaba,
n’abaamufumita balimulaba,
    era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.
Weewaawo. Amiina!

Read full chapter

11 (A)Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.”

Read full chapter