Add parallel Print Page Options

(A)era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala.
    Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.

Read full chapter

(A)Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo?
    Temulina kabaka abakulembera?
Omuwi w’amagezi wammwe yafa,
    ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
10 (B)Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni
    ng’omukazi alumwa okuzaala.
Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga
    ogende obeere ku ttale.
Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni,
    era eyo gye ndibalokolera.
Ndibanunulira eyo
    okuva mu mukono gw’omulabe.

Read full chapter

(A)Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa
    ne batazaalibwa?” bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ate olubuto ndusiba ntya
    nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera Mukama Katonda wo.

Read full chapter