Add parallel Print Page Options

32 (A)Kale kiki kye banaddamu
    ababaka b’eggwanga eryo?
Mukama yassaawo Sayuuni,
    ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”

Read full chapter

(A)Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala,
    ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza,
ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba,
    bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.

Read full chapter

(A)Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira
    mu kubwatuuka ne mu musisi,
ne mu ddoboozi ery’omwanguka,
    ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.

Read full chapter

19 (A)Ebintu bino ebibiri bikuguddeko
    ani anaakunakuwalirako?
Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,
    ani anaakubeesabeesa?

Read full chapter

(A)Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo.

Read full chapter

18 (A)Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n’amayinja agayesipi nga n’ekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ng’endabirwamu ennungi.

Read full chapter

16 (A)Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja,
    ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda,
ery’omuwendo, okuba omusingi;
    oyo alyesiga taliterebuka.

Read full chapter

19 (A)Emisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, 20 (B)ogwokutaano aga sadonukisi, ogw’omukaaga sadiyo, ogw’omusanvu aga kerusoliso, ogw’omunaana aga berulo, ogw’omwenda aga topazi, ogw’ekkumi aga kerusoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu aga kuwakinso, n’ogw’ekkumi n’ebiri aga amesusito.

Read full chapter