Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu

15 (A)Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa
    ne kimalibwawo.
Kiiri[a] ekya Mowaabu nakyo
    ne kizikirizibwa mu kiro!
(B)Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
    okukaabira mu ssabo lyabwe.
    Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
    na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
(C)Beesibye ebibukutu mu nguudo;
    ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.
Buli muntu atema emiranga
    n’abikaabira amaziga amayitirivu.
(D)Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
    n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.
Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
    emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.

(E)Omutima gwange gukaabira Mowaabu;
    abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali
    ne Yegulasuserisiya.
Bambuka e Lakisi
    nga bwe bakaaba;
bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu
    nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
(F)Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,
    omuddo guwotose,
omuddo omugonvu, guggwaawo,
    tewali kintu kimera.
(G)Abantu basomoka akagga ak’enzingu
    nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;
    amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,
    n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
(H)Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,
    naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;
empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,
    ne ku abo abalisigalawo ku nsi.

Footnotes

  1. 15:1 Ali ne Kiiri bye bibuga ebikulu eby’Abamowaabu.