Add parallel Print Page Options

11 (A)Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
    emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.

Read full chapter

(A)Kyenava njogera nti, “Munveeko,
    mundeke nkaabire ddala nnyo.
Temugezaako kunsaasira
    olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”

Read full chapter

10 (A)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
    era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
    n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
    n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.

Read full chapter

(A)Naye bwe ŋŋamba nti,
    “Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,”
ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka,
    ogukwekeddwa mu magumba gange.
Nkooye okukizibiikiriza
    era ddala sisobola.

Read full chapter

(A)Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe.

Read full chapter