Add parallel Print Page Options

Obubaka Obukwata ku Ddamasiko

17 (A)“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga,
    kifuuse matongo.
(B)Ebibuga bya Aloweri babidduseemu:
    birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga
    nga tewali azikanga.
(C)Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,
    n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo;
naye abalisigalawo mu Busuuli,
    baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

(D)“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera;
    era akoggere ddala.
(E)Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano,
    n’omukono gwe ne gukungula empeke;
weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano
    mu Kiwonvu kya Lefayimu.
(F)Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa
    ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa,
ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo,
    bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,”
    bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.

(G)Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe,
    n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
(H)So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe,
    emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera,
oba empagi za katonda wa Baasera
    oba ebyoto kwe bootereza obubaane.

Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.

10 (I)Weerabidde Katonda Omulokozi wo,
    so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go;
kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa
    n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
11 (J)Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye,
    era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa,
tolibaako ky’okungula
    wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.

12 (K)Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,
    bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!
Okuwuluguma kw’abantu,
    bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 (L)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
    Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
    era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14 (M)Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi.
    Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali.
Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga,
    era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.

A Prophecy Against Damascus

17 A prophecy(A) against Damascus:(B)

“See, Damascus will no longer be a city
    but will become a heap of ruins.(C)
The cities of Aroer(D) will be deserted
    and left to flocks,(E) which will lie down,(F)
    with no one to make them afraid.(G)
The fortified(H) city will disappear from Ephraim,
    and royal power from Damascus;
the remnant of Aram will be
    like the glory(I) of the Israelites,”(J)
declares the Lord Almighty.

“In that day(K) the glory(L) of Jacob will fade;
    the fat of his body will waste(M) away.
It will be as when reapers harvest the standing grain,
    gathering(N) the grain in their arms—
as when someone gleans heads of grain(O)
    in the Valley of Rephaim.(P)
Yet some gleanings will remain,(Q)
    as when an olive tree is beaten,(R)
leaving two or three olives on the topmost branches,
    four or five on the fruitful boughs,”
declares the Lord, the God of Israel.

In that day(S) people will look(T) to their Maker(U)
    and turn their eyes to the Holy One(V) of Israel.
They will not look to the altars,(W)
    the work of their hands,(X)
and they will have no regard for the Asherah poles[a](Y)
    and the incense altars their fingers(Z) have made.

In that day their strong cities, which they left because of the Israelites, will be like places abandoned to thickets and undergrowth.(AA) And all will be desolation.

10 You have forgotten(AB) God your Savior;(AC)
    you have not remembered the Rock,(AD) your fortress.(AE)
Therefore, though you set out the finest plants
    and plant imported vines,(AF)
11 though on the day you set them out, you make them grow,
    and on the morning(AG) when you plant them, you bring them to bud,
yet the harvest(AH) will be as nothing(AI)
    in the day of disease and incurable(AJ) pain.(AK)

12 Woe to the many nations that rage(AL)
    they rage like the raging sea!(AM)
Woe to the peoples who roar(AN)
    they roar like the roaring of great waters!(AO)
13 Although the peoples roar(AP) like the roar of surging waters,
    when he rebukes(AQ) them they flee(AR) far away,
driven before the wind like chaff(AS) on the hills,
    like tumbleweed before a gale.(AT)
14 In the evening, sudden(AU) terror!(AV)
    Before the morning, they are gone!(AW)
This is the portion of those who loot us,
    the lot of those who plunder us.

Footnotes

  1. Isaiah 17:8 That is, wooden symbols of the goddess Asherah