Add parallel Print Page Options

11 (A)Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
    n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
    “Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 (B)Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
    Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
    ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 (C)Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,
    abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
    bakyamizza Misiri.
14 (D)Mukama abataddemu
    omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
    ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 (E)Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
    agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.

16 (F)Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali.

Read full chapter