Isaaya 19:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli.
Read full chapter
Isaaya 62:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!
Muzimbe oluguudo,
mulugyemu amayinja.
Muyimusize amawanga ebbendera.
Okuva 14:26-31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gakomewo gaggweere ku Bamisiri, ne ku magaali gaabwe, ne ku basajja baabwe abeebagadde embalaasi.” 27 (A)Bw’atyo Musa n’agololera ennyanja omukono gwe, obudde bwe bwakya n’ekomawo n’amaanyi, Abamisiri ne bagidduka nga balaba ejja; Mukama, Abamisiri n’abasaanyaawo wakati mu nnyanja. 28 Amazzi ne gakomawo ne gasaanikira amagaali n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lya Falaawo lyonna eryali ligoberedde Abayisirayiri mu nnyanja. Tewaali n’omu ku bo eyawona.
29 (B)Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono. 30 (C)Bwe kityo ku lunaku olwo Abayisirayiri Mukama n’abawonya Abamisiri. Abayisirayiri ne balaba Abamisiri ku lubalama lw’ennyanja nga bafudde. 31 (D)Abayisirayiri ne balaba obuyinza obunene ennyo Mukama bwe yalaga ng’akola ku Bamisiri: abantu ne batya Mukama, ne bakkiriza Mukama n’omuweereza we Musa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.