Add parallel Print Page Options

10 (A)Mugende mwekweke mu njazi,
    mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
    nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.

Read full chapter

19 (A)Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
    ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
    n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
    bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.

Read full chapter

21 (A)Balidduka ne beekukuma mu mpuku
    ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
    n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
    bwaliyimuka okukankanya ensi.

Read full chapter