Add parallel Print Page Options

16 (A)Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa
    okwetemera entaana wano,
n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,
    ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?

17 “Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,
    akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 (B)Alikuzingazingako,
    n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.
Eyo gy’olifiira,
    era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,
    ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.

Read full chapter

Bwe baatuuka mu kibuga, Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja be ne batta abamu ku basajja abo, ne babasuula mu kinnya. (A)Naye kkumi ku bo ne bagamba Isimayiri nti, “Totutta! Tulina eŋŋaano ne sayiri, n’omuzigo, n’omubisi gw’enjuki, tubikwese mu nnimiro.” Awo ne babaleka ne batabattira wamu na bali abalala. (B)Ekinnya mwe baasuula emirambo gy’abasajja bonna be battira awamu ne Gedaliya, kye kiri kabaka Asa kye yali asimye ng’alwanyisa Baasa kabaka wa Isirayiri. Isimayiri mutabani wa Nesaniya yakijjuza abafu.

Read full chapter