Add parallel Print Page Options

Zibasanze abo Abeesiga Misiri

31 (A)Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
    abeesiga embalaasi,
abeesiga amagaali gaabwe amangi,
    abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi
ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri
    wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
(B)Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
    tajjulula bigambo bye.
Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,
    ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
(C)Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
    n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.
Katonda bw’agolola omukono gwe
    oyo ayamba, alyesittala,
    n’oyo ayambibwa aligwa
    era bombi balizikiririra wamu.
(D)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
“Ng’empologoma bwe wuluguma,
    empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo
era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba
    kiyitibwa awamu okugirumba,
tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,
    newaakubadde oluyoogaano lwabwe.
Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,
    okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
(E)Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
    bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;
alikikuuma, n’akiwonya,
    alikiyitamu n’akirokola.”

Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri. (F)Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.

(G)“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;
    ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo.
Alidduka ekitala,
    n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
(H)Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,
    n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,”
bw’ayogera Mukama
    nannyini muliro oguli mu Sayuuni,
    era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.

Woe to Those Who Rely on Egypt

31 Woe(A) to those who go down to Egypt(B) for help,
    who rely on horses,(C)
who trust in the multitude of their chariots(D)
    and in the great strength of their horsemen,
but do not look to the Holy One(E) of Israel,
    or seek help from the Lord.(F)
Yet he too is wise(G) and can bring disaster;(H)
    he does not take back his words.(I)
He will rise up against that wicked nation,(J)
    against those who help evildoers.
But the Egyptians(K) are mere mortals and not God;(L)
    their horses(M) are flesh and not spirit.
When the Lord stretches out his hand,(N)
    those who help will stumble,
    those who are helped(O) will fall;
    all will perish together.(P)

This is what the Lord says to me:

“As a lion(Q) growls,
    a great lion over its prey—
and though a whole band of shepherds(R)
    is called together against it,
it is not frightened by their shouts
    or disturbed by their clamor(S)
so the Lord Almighty will come down(T)
    to do battle on Mount Zion and on its heights.
Like birds hovering(U) overhead,
    the Lord Almighty will shield(V) Jerusalem;
he will shield it and deliver(W) it,
    he will ‘pass over’(X) it and will rescue it.”

Return,(Y) you Israelites, to the One you have so greatly revolted(Z) against. For in that day(AA) every one of you will reject the idols of silver and gold(AB) your sinful hands have made.(AC)

“Assyria(AD) will fall by no human sword;
    a sword, not of mortals, will devour(AE) them.
They will flee before the sword
    and their young men will be put to forced labor.(AF)
Their stronghold(AG) will fall because of terror;
    at the sight of the battle standard(AH) their commanders will panic,(AI)
declares the Lord,
    whose fire(AJ) is in Zion,
    whose furnace(AK) is in Jerusalem.