Add parallel Print Page Options

(A)Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
    Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
    alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
    era alibalokola.

Read full chapter

Isirayiri Alinnya ku Balabe be

11 (A)“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
    balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
    ne baggwaawo.
12 (B)Olibanoonya abo abaakukijjanyanga
    naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
    baliggwaamu ensa.
13 (C)Kubanga nze Mukama Katonda wo
    akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
    Totya nze nzija kukuyamba.

Read full chapter

25 (A)Naye bw’ati bw’ayogera Mukama:

“N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe,
    n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo,
kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe,
    era ndirokola mponye abaana bo.

Read full chapter

(A)Mu kifo ky’ensonyi,
    abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri.
Mu kifo ky’okuswala
    basanyuke olw’ebyo bye balifuna
era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri,
    essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

18 (A)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”

Read full chapter

12 (A)Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi;
    nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.

Read full chapter

(A)Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala;
    mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi.
    Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.

Read full chapter