Add parallel Print Page Options

19 (A)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza.

Read full chapter

Bakatonda b’e Babulooni

46 (A)Beri avunnama,
    Nebo akutamye!
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.
    Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
(B)Bikutamye byonna bivuunamye.
    Tebiyinza kuyamba ku mbeera,
    byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.

Read full chapter

12 (A)Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko.

Read full chapter