Add parallel Print Page Options

18 (A)Kale ani gwe mulifaananya Katonda?
    Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 (B)Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,
    n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,
    n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 (C)Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza
    oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda
ne yenoonyeza omukozi omugezigezi
    okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.

Read full chapter