Isaaya 41:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Totya kubanga nze ndi wamu naawe;
tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
Yobu 13:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu,
ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”
Isaaya 51:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo.
N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga.
Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna.
Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.