Add parallel Print Page Options

Isirayiri Alinnya ku Balabe be

11 (A)“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
    balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
    ne baggwaawo.
12 (B)Olibanoonya abo abaakukijjanyanga
    naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
    baliggwaamu ensa.
13 (C)Kubanga nze Mukama Katonda wo
    akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
    Totya nze nzija kukuyamba.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
    totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
    Omutukuvu wa Isirayiri.
15 (D)“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,
    ekyogi eky’amannyo amangi.
Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,
    obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16 (E)Oliziwewa empewo n’ezifuumula,
    embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.
Era naawe olisanyukira mu Mukama,
    era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”

Read full chapter