Add parallel Print Page Options

Mukama Ayimusa Isirayiri

17 (A)“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi
    ne baganoonya naye ne gababula,
    ate nga ennimi zaabwe zikaze,
nze Mukama ndibawulira,
    nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.

Read full chapter

25 (A)Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu.

Read full chapter

(A)Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba.

Read full chapter

11 (A)Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.

Read full chapter

41 (A)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
    ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.

Read full chapter

(A)omulema alibuuka ng’ennangaazi,
    n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
    ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.

Read full chapter