Add parallel Print Page Options

Mukama Asoomooza bakatonda Abalala

21 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,
    “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.
Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.

Read full chapter

Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka

43 (A)Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,
    ggwe Yakobo,
    eyakukola ggwe Isirayiri:
“Totya kubanga nkununudde,
    nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.

Read full chapter

(A)Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
    okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
    era ow’enkomerero, nze wuuyo.”

Read full chapter

(A)“Nze Alufa ne Omega,”[a] bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:8 Alufa ne Omega ze nnukuta ez’Oluyonaani. Alufa y’esooka, Omega n’esembayo. Katonda ye ntandikwa era ye nkomerero

17 (A)Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero,

Read full chapter

13 (A)Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

Read full chapter