Add parallel Print Page Options

24 (A)Laba, temuliiko bwe muli
    ne bye mukola tebigasa.
    Abo ababasinza bennyamiza.

Read full chapter

29 (A)Laba, bonna temuli nsa!
    Bye bakola byonna tebigasa.
    Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”

Read full chapter

19 (A)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
    ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
    okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
    ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.

Read full chapter

18 (A)“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
    Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
    nga akola ebifaananyi ebitayogera!

Read full chapter

16 (A)Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga.

Read full chapter