Add parallel Print Page Options

28 (A)Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
    Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
    tewali n’omu addamu bwe mbuuza.

Read full chapter

23 (A)Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”

Read full chapter

Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa

59 (A)Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,
    era si muzibe wa matu nti tawulira.

Read full chapter

14 (A)Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”

Read full chapter

22 (A)Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.

Read full chapter

16 (A)Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko.

Read full chapter